Revelation 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba awangudde, alyambazibwa ebyambalo ebyeru, n'erinnya lye sigenda kulisangula mu kitabo kya bulamu; erinnya lye ndiryatula mu maaso ga Kitange ne mu ga bamalayika be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru, era sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo awangula, alyambazibwa ebyambalo ebyeru, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky'obulamu, wabula ndirangirira nti oyo wange, mu maaso ga Kitange n'aga bamalayika be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be.