Revelation 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne malayika w'Ekleziya mu Filadelufiya muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omutuukirivu, Omutuufu ddala, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo ne wataba aggalawo, aggalawo ne wataba aggulawo, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo omutukuvu, ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, ne wataba aggalawo, aggalawo, ne wataba aggulawo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Filadelufiya muwandiikire nti: Oyo omutuukirivu era ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, era aggulawo ne wataba n'omu ayinza kuggalawo, aggalawo ne wataba n'omu ayinza kuggulawo, bino by'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti