Revelation 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
By'okola mbimanyi. Kale nno ntadde mu maaso go omulyango omuggule ogutalina n'omu asobola kuguggala; mmanyi nti newandibadde ng'amaanyi olina matono, naye era wanyweza ekigambo kyange, teweegaana linnya lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mmanyi ebikolwa byo. Laba, nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw'atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, n'okwata ekigambo kyange, n'oteegaana linnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi by'okola. Nakuggulirawo oluggi olutayinza kuggalwawo muntu n'omu. Mmanyi ng'olina amaanyi matono, kyokka wanywerera ku kigambo kyange n'otonneegaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange.