Revelation 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nzija kuddira ab'omu sinaagooga ya Sitaani, abeeyita Abayudaaya sso nga si bwe bali, wabula abalimba; laba, nzija kubaddira bajje bavunname ku bigere byo, bategeere nti nakwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nga ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g'ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale abo abagoberezi ba Sitaani, abeeyita Abayudaaya sso nga si Bayudaaya, naye nga balimba bulimbi, ndibaleeta mu maaso go, bavuuname kumpi n'ebigere byo, bategeere nti nkwagala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala.