Revelation 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, ne ndaba: laba, mu ggulu omulyango omuggule! Eddoboozi eryali lyogedde nange okusooka, eryali lyogera nga liri ng'ekkondeere, ne ligamba nti: “Yambuka eno, nkulage ebitalirema kutuuka ng'ebyo biwedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, ne mpulira eddoboozi ng'ery'akagombe lye nali nsoose okuwulira nga lyogera nange, ne liŋŋamba nti, “Linnya otuuke wano, nange nnaakulaga ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa bino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba oluggi olugguddwawo mu ggulu. Era eddoboozi lye nasooka okuwulira nga livuga ng'akagombe ne liŋŋamba nti: “Yambuka wano, nkulage ebiteekwa okuddirira bino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ng'ayogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo.