Revelation 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga n'abakadde abiri mu abana beeyala mu maaso g'oyo atudde ku nnamulondo, ne bamusinza oyo omulamu emirembe n'emirembe; engule zaabwe nga bazikasuka mu maaso ga nnamulondo nga bwe bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abakadde abiri mw'abana (24) ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era ne basinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era ne basuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bo abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, omulamu emirembe n'emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g'entebe eyo, nga bwe bagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti