Revelation 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Osaanidde, ayi Mukama era Katonda waffe, okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza, kubanga ggwe watonda ebintu byonna; olw'okwagala kwo, byabeerawo era ne bitondebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wa bitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda waffe, osaanidde okutiibwa n'okutendebwa, era n'okubeera n'obuyinza, kubanga ggwe watonda byonna, era byatondebwa ne bibaawo nga bwe wayagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.