Revelation 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago ne nkwatibwa Mwoyo; laba, mu ggulu waali wateekeddwayo nnamulondo; nga waliwo atudde ku nnamulondo!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago nga ndi mu Mwoyo, ne ndaba entebe ey'Obwakabaka eyali eteekeddwa mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe eyo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Mwoyo n'anjijako, ne ndaba entebe ey'obwakabaka eteekeddwa mu ggulu, era nga ku ntebe eyo kuliko agituddeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe;