Revelation 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnamulondo nga mufubutukamu ebimyanso, amaloboozi n'okubwatuka kw'eggulu; mu maaso ga nnamulondo nga waliwo ettawaaza musanvu ezaaka, gy'emyoyo omusanvu egya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu ntebe eyo ne muvaamu okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. Mu maaso g'entebe waliwo ettaala ezaaka musanvu ez'omuliro, nga gy'emyoyo omusanvu egya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ntebe eyo ey'obwakabaka ne muvaamu okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka. Waaliwo n'ettaala musanvu ezaaka mu maaso g'entebe eyo. Ezo gye myoyo omusanvu egya Katonda. Zek 4:2
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gye myoyo omusanvu egya Katonda;