Revelation 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu ebyo ebina, buli kimu nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga; nga birina amaaso kungulu wonna ne munda, nga byogera emisana n'ekiro awatali kuweera nti: “Mutuukirivu, mutuukirivu, mutuukirivu, Omukama Katonda Omuyinza wa buli kantu, eyaliwo, aliwo era ajja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kimu ku biramu bino ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga ebijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro awatali kuwummula byogera nti, “Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kimu ku biramu ebyo ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga, era ebiramu ebyo nga bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro, awatali kusalawo, nga bigamba nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mukama Katonda, Omuyinzawaabyonna, eyabaawo era abaawo, era ajja okubaawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.