Revelation 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu ebyo bwe byabanga biwa ekitiibwa n'ettendo era nga byebaza oyo atudde ku nnamulondo, omulamu emirembe n'emirembe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebiramu buli lwe byawanga ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiramu ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era omulamu emirembe n'emirembe, ne bimutenda era ne bimwebaza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,