Revelation 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo mu mukono ogwa ddyo ogw'oli atudde ku nnamulondo ne ndabamu ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu nga kisibiddwa n'envumbo musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe omuzingo nga guwandiikiddwa munda ne kungulu, nga gusibiddwa nnyo n'envumbo musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga kiwandiikiddwa munda ne kungulu, era nga kisibiddwa n'obubonero musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu.