Revelation 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga boogera n'eddoboozi eddene nti: “Akaliga akattibwa kasaanidde okuba n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi n'amaanyi, n'ettendo, n'ekitiibwa n'okugulumizibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omwana gw’Endiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga boogera mu ddoboozi ddene nti, “Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Omwana gw'Endiga, ggwe eyattibwa, osaanidde okubeera n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi, n'amaanyi, era osaanidde okuweebwa ekitiibwa, n'okugulumizibwa, n'okutendebwa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boogera n'eddoboozi ddene nti Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.