Revelation 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitonde byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi n'ebiri mu nnyanja, leero byonna ebibirimu, ne mpulira nga bireekaana nti: “Atudde ku nnamulondo n'Akaliga, bombi basaanidde okufuna okugulumizibwa, n'ettendo, ekitiibwa, n'obuyinza emirembe n'emirembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, Emirembe n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne mu nnyanja n'ebirimu byonna nga bigamba nti, “Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'Endiga, omukisa n'ettendo, ekitiibwa n'amaanyi byabwe emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne mpulira buli kitonde mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi ne mu nnyanja, byonna nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka era n'Omwana gw'Endiga, atenderezebwe, aweebwe ekitiibwa; agulumizibwe, era abe n'obuyinza emirembe n'emirembe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga, omukisa gubenga n'ettendo n'ekitiibwa n'amaanyi emirembe n'emirembe.