Revelation 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'alangirira n'eddoboozi eddene nti: “Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula envumbo zaakyo omusanvu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuuza mu eddoboozi ddene nti, “Ani asaanidde okubembula envumbo omusanvu n'okwanjuluza omuzingo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba malayika ow'amaanyi. N'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ani asaanidde okubembula obubonero ku muzingo gw'ekitabo, n'okugwanjuluza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?