Revelation 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggulu, ku nsi ne wansi w'ensi ne wabula asobola okubikkula ekitabo yadde okukitunulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne watabaawo n'omu mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza omuzingo wadde okugutunulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wataba n'omu mu ggulu ne ku nsi, wadde wansi w'ensi, ayinza okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira.