Revelation 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ne nkaaba nnyo nga ndaba wabuzeewo eyasangibwa ng'asaanidde okubikkula ekitabo yadde okukitunulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo eyasaanira okwanjuluza omuzingo newakubadde okugutunulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo asaanira okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira: