Revelation 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba nga mu makkati ga nnamulondo n'ebiramu ebina ne mu bakadde wayimiriddewo Akaliga; kaali ng'akaali kattiddwako, nga kalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda egitumibwa mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde wakati awali entebe ey'obwakabaka, nga yeetooloddwa ebiramu ebina, n'abakadde, ng'afaanana ng'eyattibwako. Yalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egyatumibwa mu nsi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.