Revelation 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kaamala okukwata ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu abana ne beeyala mu maaso g'Akaliga, buli omu ng'akutte entongooli n'ebikopo ebya zaabu ebijjudde obubaani, anti ze ssaala z'abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yakwata omuzingo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu bana (24) ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yagukwata, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu abana, ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'Endiga. Buli omu yalina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane: ze ssaala z'abantu ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu bana ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.