Revelation 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bagamba nti: “Osaanidde okufuna ekitabo n'okubembula envumbo zaakyo; kubanga wattibwa n'onunulira Katonda abantu n'omusaayi gwo okuva mu buli kika na buli lulimi, mu buli bantu na buli ggwanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo, n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bayimba nti, “Gwe osaanidde okutoola omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo, kubanga wattibwa omusaayi gwo ne gununulira Katonda abantu okuva mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayimba oluyimba oluggya nga bagamba nti: “Osaanidde okutwala omuzingo gw'ekitabo, n'okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa, era olw'okufa kwo, wanunulira Katonda abantu mu bika byonna, ne mu nnimi zonna, ne mu bantu bonna, ne mu mawanga gonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,