Revelation 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba Akaliga bwe kabembula emu ku nvumbo omusanvu; ne mpulira ekimu ku biramu nga kyogera mu ddoboozi ng'ery'eraddu nti: “Jjangu!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndaba Omwana gw'endiga nga abembula emu ku nvumbo omusanvu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n'eddoboozi ery'okubwatuka nti, “Jjangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akamu ku bubonero omusanvu, era ne mpulira ekimu ku biramu ebina, nga kyogera mu ddoboozi eriri nga laddu nti: “Jjangu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu olabe.