Revelation 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali baleekaana n'eddoboozi eddene nti: “Ayi Nnyinibuyinza, ggwe omutuukirivu era ow'amazima, bunaaba ddi n'olamula n'okuwoolera eggwanga olw'omusaayi gwaffe ku abo bonna abali mu nsi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nga bagamba nti: “Mukama Omutuukirivu era ow'amazima, olituusa ddi obutasalira bantu ba ku nsi musango kubasinga, n'obabonereza olw'okututta?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?