Revelation 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo buli omu n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne balagirwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutta nga bo nga bamaze okuggwaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga bawummula, okutuusa baweereza bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu ku bo n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa omuwendo gwa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutiibwa nga bo, lwe guliwera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.