Revelation 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kaabembula envumbo eyoomukaga, bwe natunula, laba ne wabaawo musisi ow'amaanyi, enjuba n'eddugala okufaanana ekikutiya ekikole mu byoya by'endiga; n'omwezi gwonna ne gufuuka ng'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yabembula envumbo ey'omukaaga, ne wabaawo ekikankano kinene, enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akabonero ak'omukaaga. Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjuba n'ezikira n'efaanana ng'ekikutiya ekiddugala, n'omwezi gwonna ne gumyuka ng'omusaayi. 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:25
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabembula akabonero ek'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;