Revelation 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke amaaso g'atudde ku nnamulondo n'obusungu bw'Akaliga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagamba ensozi n'amayinja nti, “Mutugweko, mutukweke mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke, oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka aleme kutulaba, era mutuwonye obusungu bw'Omwana gw'Endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga: