Revelation 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, laba embalaasi enjeru; eyali agyebagadde yalina omusaale; n'aweebwa engule, n'afuluma nga yeekaaliisa agende ng'awangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo agituddeko ng'alina omutego, n'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, n'awangulira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enjeru. Oyo agyebagadde yalina omutego. N'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, alyoke awangulire ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.