Revelation 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wafubutukayo embalaasi endala ey'akawemba; eyali agyebagadde n'aweebwa okuggya eddembe mu nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu, era oyo eyali agituddeko n'aweebwa ekitala ekinene n'obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, abantu battiŋŋane bokka na bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wavaayo embalaasi endala, nga mmyufu. Oyo agyebagadde yalina obuyinza okuleeta olutalo ku nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.