Revelation 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kaabembula envumbo eyookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Bwe natunula, laba embalaasi enzirugavu; eyali agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yabembula envumbo ey'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu, n'eyali agituddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enzirugavu. Oyo agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu olabe. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.