Revelation 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kaabembula envumbo eyookuna, ne mpulira eddoboozi ery'ekiramu ekyokuna nga ligamba nti: “Jjangu!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yabembula envumbo ey'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kigamba nti: “Jjangu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu olabe.