Revelation 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, laba embalaasi ensiiwuufu; eyali agyebagadde nga bamuyita Walumbe, amagombe nga gagenda gamugoberera. Baaweebwa obuyinza ku kyokuna eky'ensi, bagende nga batta nga beeyamba ekitala, enjala, kawumpuli n'ebisolo eby'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu, n'eyali agituddeko, erinnya lye Kufa, ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyokuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n'ensolo z'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ntunula, ne ndaba embalaasi eya kivuvvu. Agyebagadde erinnya lye nga ye Kufa, ate Magombe ng'ajja amugoberera. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekimu ekyokuna eky'ensi, bassise ekitala n'enjala n'endwadde, n'ebisolo eby'oku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo z'ensi.