Revelation 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lwa kino, nalaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi nga banyigiriza empewo ez'ensi zireme kukuntira ku nsi, ku nnyanja newandibadde ku muti n'ogumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi, nga baziyiza embuyaga ennya ez'ensi, waleme kubaawo mbuyaga ekunta ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku muti n'ogumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ki muti gwonna.