Revelation 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga baleekaana n'eddoboozi eddene nti: “Katonda waffe awaŋŋamye ku nnamulondo era n'Akaliga be bannannyini kulokola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka era bwa Mwana gw’Endiga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe n'Omwana gw'endiga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Twalokolebwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era n'Omwana gw'Endiga!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga.