Revelation 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamalayika bonna baali bayimiridde nga beebunguludde nnamulondo n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe mu maaso ga nnamulondo, ne basinza Katonda
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamalayika bonna baali bayimiridde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'abakadde, n'ebiramu ebina. Awo ne bavuunama mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne basinza Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetooloodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina; ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda,