Revelation 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bagamba nti: “Amiina! Katonda waffe agulumizibwe, afune ekitiibwa n'amagezi, yeebazibwe, afune ettendo, obuyinza n'amaanyi emirembe n'emirembe. Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi, n’okwebazibwa, n’ettendo, n’obuyinza, n’amaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga boogera nti, “Amiina, omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe, Amiina.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe bagamba nti: “Amiina. Katonda waffe oweekitiibwa n'amagezi, era ow'obuyinza n'amaanyi agulumizibwenga, atenderezebwenga, era yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boogera nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe. Amiina.