Revelation 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyebava babeera mu maaso ga nnamulondo ya Katonda ne bamuweereza mu Kiggwa kye emisana n'ekiro. N'oyo atudde ku nnamulondo alibanjululizaako weema ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebavudde “babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye. Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, anaaberanga nabo ng’abalabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu Yeekaalu ye, n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda, ne baweereza emisana n'ekiro mu Ssinzizo lye. Era oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, anaabeeranga nabo ng'abakuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.