Revelation 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Akaliga mu makkati ga nnamulondo, ke kanaabafuganga; kalibatuusa ku nsulo z'amazzi ag'obulamu; ne Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka, y’anaabeeranga omusumba waabwe era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu, era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Omwana gw'Endiga, ali wakati w'entebe ey'obwakabaka, anaabalabiriranga, abakulembere, abatuuse ku nsulo z'amazzi ag'obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.