Revelation 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu; n'akoowoola n'eddoboozi eddene ng'alangiriza bamalayika abana abaali bafunye obuyinza okukola akabi ensi n'ennyanja,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ng'ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda Nnannyinibulamu. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'ayita bamalayika abana abaalagirwa okukola akabi ku nsi ne ku nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja,