Revelation 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira omuwendo gw'abo abassibwako akabonero nga bawera akasiriivu kamu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaggyiddwa mu buli kika ky'abaana ba Yisirayeli:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako envumbo, nga baali emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpulira omuwendo gw'abo abaateekebwako akabonero. Baali emitwalo kkumi n'ena, mu enkumi nnya, abaava mu buli kika ky'abantu ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako akabonero, baali kasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaateekebwako akabonero mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.