Revelation 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akakumi kamu mu enkumi bbiri abassibwako akabonero okuva mu kika kya Yuda, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Rubeni, akakumi kamu mu enkumi bbiri okuva mu kika kya Gaadi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Yuda, abaateekebwako akabonero, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Rewubeeni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Gaadi, omutwalo gumu mu enkumi bbiri;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri: