Revelation 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, bwe natunula, laba ebbiina eddene eritalina muntu n'omu asobola kulibala, nga bava mu mawanga gonna ne mu bika byonna ne mu bantu n'ennimi zonna, nga bayimiridde mu maaso ga nnamulondo ne mu maaso g'Akaliga, bambadde engoye enjeru n'ensansa nga zibali mu ngalo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga, mu bika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne ntunula, ne ndaba ekibiina kinene eky'abantu, omuntu b'atayinza kubala. Baava mu mawanga gonna ne mu bika byonna, ne mu bantu bonna, ne mu nnimi zonna. Ne bayimirira mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'Omwana gw'Endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, nga bakutte n'amatabi g'enkindu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli gwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, ga bambadde ebyambalo ebyeru, amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;