Revelation 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookusatu n'afuuwa ekkondeere: emmunyeenye eyaka ng'ekitawuliro n'eva mu ggulu, n'egwa ku kitundu ekyokusatu eky'emigga n'enzizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookusatu n'afuuwa eŋŋombe ye. Emmunyeenye ennene n'eva ku ggulu, ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu ekimu ekyokusatu eky'emigga ne mu nzizi z'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.