Revelation 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmunyeenye eyo eyitibwa Mususa. Ekitundu ekyokusatu eky'amazzi ne kifuuka mususa; abantu bangi ne bafa olw'amazzi ago, kubanga gaali gakaaye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso, n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso, n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Erinnya ly'emmunyeenye eyo nga ye Kakaayira. Abantu bangi ne bafa olw'okunywa amazzi ago kubanga gaafuulibwa agakaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.