Revelation 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate malayika owookuna n'afuuwa ekkondeere, ekitundu ekyokusatu eky'enjuba ne kikubwa, n'ekyokusatu eky'omwezi, n'ekyokusatu eky'emmunyeenye; bwe kityo ekyokusatu eky'ekitangaala kyazo ne kizikira; olunaku ne luzikirako ekitundu ekyokusatu, era n'ekiro bwe kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n'ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye, ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookuna n'afuuwa eŋŋombe ye. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'enjuba, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'omwezi, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ne bikubibwa, ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekitangaala kyabyo ne kizikira. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'olunaku ne kitaba na kitangaala, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ekiro nakyo bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.