Revelation 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba, ne mpulira empungu, eyali ebuukira mu bbanga, ng'egamba n'eddoboozi eddene nti: “Zibasanze, zibasanze, zibasanze abali ku nsi bamalayika abasatu abasigadde bwe banaafuuwa amakondeere!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti, “Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe natunula, ne mpulira empungu ebuukira waggulu mu bbanga ng'eyogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Akabi! Akabi! Akabi kajja kugwira abali ku nsi, eŋŋombe endala bwe zinaavuga, bamalayika abasatu ze bagenda okufuuwa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.