Revelation 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika omulala n'ajja, n'ayimirira ku mwaliiro ng'alina ekyoterezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaani bungi abugatte awamu n'essaala z'abatuukirivu bonna ku mwaliiro ogwa zaabu mu maaso ga nnamulondo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne malayika omulala n'ajja ng'alina ekyoterezo ekya zaabu, n'ayimirira okuliraana ekyoto, n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne malayika omulala n'ajja, n'ayimirira mu maaso g'ekyoto, ng'alina ekyoterezo ekya zaabu. N'aweebwa obubaane bungi abuweerereze wamu n'essaala z'abantu ba Katonda bonna, ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso g'entebe ya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika omulala n'ajja n'ayimirira ku kyoto, ng'alina ekyotezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.