Revelation 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'addira ekyoterezo n'akijjuzaamu omuliro ng'aguggya ku mwaliiro, n'akikasuka ku nsi. Ne wabaawo okubwatuka, amaloboozi n'ebimyanso, n'okukankana kwa musisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika n'atwala ekyoterezo, n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi, ne wabaawo okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika oyo n'atwala ekyoterezo ekyo, n'akijjuza omuliro, ng'aguggya mu kyoto, n'akisuula ku nsi. Ne wabaawo okubwatuka, n'okuwuuma, n'okukankana kw'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika n'atwala ekyotezo; n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.