Revelation 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika omubereberye n'afuuwa ekkondeere: ne wabaawo omuzira n'omuliro nga byetabudde n'omusaayi, ne bikanyugibwa ku nsi; ekyokusatu eky'ensi ne kibengeya, n'ekyokusatu eky'emiti ne kiggya, n'omuddo gwonna omubisi ne guggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi, n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika asooka n'afuuwa eŋŋombe ye, ne wabaawo omuzira n'omuliro nga bitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi. Ekitundu ekimu ekyokusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emiti, na buli muddo omubisi, ne biggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.