Revelation 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookutaano n'afuuwa ekkondeere: ne ndaba ng'emmunyeenye eyavudde edda mu ggulu n'egwa ku nsi eweebwa ekisumuluzo ky'obuya bw'ennyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi, n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika owookutaano n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne ndaba emmunyeenye eyali yava waggulu n'egwa wansi, n'eweebwa ekisumuluzo ekiggula obunnya obutakoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.