Revelation 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaali zirina emikira ng'egy'enjaba, nga kuliko amayindu; obuyinza bwazo obw'okukolera abantu obubi okumala ebbanga ery'emyezi etaano buziri mu mikira gyazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa nga giriko n'enkato, ne mu mikira gyazo nga mulimu obuyinza obw'okulumira abantu emyezi etaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaalina emikira ng'egy'enjaba ez'obusagwa, nga giriko n'enkato, era ng'amaanyi gaazo ag'okubonyaabonya abantu okumala emyezi etaano, gali mu mikira gyazo egyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyazo mulimu obuyinza bwazo okulumira abantu emyezi etaano.