Revelation 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaalina kabaka azifuga, ye malayika w'omu nnyanga. Mu Lwebureeyi ayitibwa Abaddoni, ate mu Lugereeki Apolluwoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma, erinnya mu Lwebbulaniya ye Abadoni, ne mu Luyonaani erinnya nga ye Apolwoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaalina kabaka waazo azifuga, nga ye malayika w'obunnya obutakoma. Erinnya lye mu Lwebureeyi ye Abaddoni, mu Luyonaani Apoliyoni, eritegeeza Nnamuzisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma: erinnya mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina erinnya Apoliyaani.